Luganda

Ssekabwakeweeyolera Kekakuluma Enteega

Ssekanjako Deus
By Ssekanjako Deus


Ssekabwakeweeyolera Kekakuluma Enteega
Ssekabwakeweeyolera Kekakuluma Enteega

Share


Bya Ssekanyumiza Amansa Bwino

 

Wadde embeera ya Kirazamwoyo ng'Ebbwa eriddau mu Nkovu. Tekiŋŋaana kukola gwennagunjukira ogw'okumansa bwino anti n'Omusimbu agunjukira kigwo.

 

Gwenkulojjera Muzzukulu wa Lwomwa e Mbaale mu Mawokota. Omugezi Nnyanyaali Munnassaayansi Kayingo, Dr. Aggrey Kiyingi.

 

Ng'olutalo olwaleeta Museveni ne gavumenti ye mu buyinza lugenda mu maaso nga bugolo e Bulemeezi. Omuvubuka enjasabiggu ng'Omusawo akuba emiggo!

 

Era Omwana enzaalwa eya Abalyannaka ntegeeza Abalemeezi, yali akuguse mu busawo ng'akakkalabiza emirimu gye emitala w'amayanja na kuno.

 

Yeegatta ku kiwendo ekyalina ebigendererwa by'okukyusa obufuzi obusibiramubbwa obwali bufuuse baanabaliwo okwa boobwe. Bakwate Kawenkene bateeke mu Kiŋŋaaŋŋaali, n'ekiddako balindiggule eri ng'Ekijolya.

 

Dr. Kiyingi omukono gwe gwakasa nnyo Omuyeekera Museveni ne banne beyali aduumira aba NRA, nga wano okusinga yabajuna mu bya nsimbi, engeri gyekiri nti gwemusaayi ogutambuza ebisinga obungi wansi w'enjuba.

 

Ssemulwadde yanteganya nga kw'olaba, kaweefube wabwe Lugaba yabawandako eddusu n'agenda butooke era Omuyeekera Museveni n'afuuka omukulembeze w'eggwanga mu mwaka gwa 1986.

 

Dr Kiyingi omu ku bavubuka abaali ababanguddwako ng'ate n'okutalaaga amawanga agakulaakulanye bebamu.

 

 Yatandikawo Kkampuni eya Dehezi International eyambeko okubukaza kuno ebyuma bikalimagezi mu ngeri y'okusitula tekinologiya mu ggwanga lyattu Uganda. Baabuwe, teyamanya nti ye kyeyalabanga okukuza Buganda ne Uganda ey'awamu n'ateekateeka n'okufuna ebifo eby'enkizo asinziire awo ateekereteekere eggwanga, ate abandi baakirabanga okulya mu Nsi ye olukwe.

 

Eyaayonoonye bw'asanga bw'atunula. Dr Kiyingi baamukola ye ky'ayita okumutemerera eggambo ggwawaazamatu, nga lino lyali lyakumuteebereza kutemula Mukyala we Robinah Kiyingi. 

 

 

Era bweyakomawo kuno ayiwe ettaka ku Mukazi we eyali atambuza omugongo ng'obwato. Eyo gyebaamukwatira emikono negiteekebwa gyegitawemera Ntungo.

 

Kuno kwali nga kumugamba kutta ku bigere, anti yatwala akabanga ng'ogwobutemu gumuleebuukanya. Nekisala ku misinde gyeyali atandikiddeko ng'asitudde abiri nga nkazaluggya.

 

Ddungu yannesamba, nga tayise Wabinoga! Dr. Kiyingi yasimattuka Kanywamusaayi. Kubanga byonna ebyagezebwako okumuyunga mu ttemu lino, nga mpaawo w'abyekuusizaako. Era munnange neyeggyerezebwa alyebutaala nga bulago bwa Nkoko obutasibwamu muguwa. 

 

Akugobatakutadde tabula ky'akusuuza, empewo ekusuuza Minyira. Kkampuni Dehezi International, Kiyingi weyaviira mu leebuleebu. Ng'ebyuma bikalimagezi ebyaleetebwa kuno bitandise okubulankana, ggwe ate munnange nnyinimu w'ataba Ebikere kiki ekibirobera okutemba Enju?

 

Bw'etyo yafaafaagana ng'Entungo eyiika. Amawulire mu Kibuga Sydney ekya Australia. Dr. Kiyingi gyeyali omusawo Omututumufu. Gaawandiika ku kukwatibwa kwe emitima negibatundugga ng'Akanyonyi akakwatire mu ngalo, bweyayimbulwa nebassa ekikkowe.

 

Ne Kiyingi teyali mubi, ebyayi yabinnyika mu Nsuwa okumyumyula Engugu ye abombe ng'oMusibe. 

Asegulire Abaseddekezi yeddire mu Australia asiisire obutaddira ddala kuno. Obwongo bw'Omusawo atasangika nebutusuba nga Bannayuganda.

 

Kubanga endagaano ye ey'obutadda kussa mukka gwa Uganda. 

Yagituukiriza era kuno bazza Mulambo jjuuzi mu mwaka gwa 2023.

Gwemwabbanga naye bw'akusula emirannamiro teweebikka.

 

 Dr. Kiyingi yali Kagezimunnyo ate ng'alina emikago emitala okukira omulala yenna mu biseera bye. Yali Muteeketeeka alina ekifaananyi eky'Omukulembeze okwawukana ku ba Muvamunsiko.

Kale nga kyangu okusuza Omuyeekera yenna ng'emmeeme emuceekeera nti bandinkola kyennakola. Kubanga bulijjo kyenkola bannange ssaagala bakinkole, ng'Omubbi bamubbye.

 

Kanteeke kkomekkome ku ndaala, nneme kwogera lulondakambe. Nkomewo mu kitundu ekirala tubambage. 

 

Bwebakutenda okukandula, tokanduliramu Sserukandula atali wuwo.

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved