Kwabade kubinuka masejere ku somero Seeta junior school Mukono Mbalala oluvanyuma lw'okufuna ebivudde mubigezo by'ekibiina eky'omusanvu eby'omwaka oguwedde
Bano twabasanze mu computer room y'esomero nga balindiridde maama Janet okuta ebigezo era olwabifunye endongo nesumulukuka

Seeta Junior Mbalala batuuza abayizi 193 nga 169 bayitidde mu daala erisooka,23 mu daala Ely'okubiiri nga tewali muyizi yayitidde mu daala lya kussatu yadde ely'okunna
Kubano abayizi 5 okuli Mulungi Drake Daniel, Kipsang kite Alvin, Apio Saraphina, Mutaawe Adnah ne Magambo Mark Kizito bafunye 4
Akulira abasomesa b'ekibiina eky'omusanvu Yasin kiggundu agamba basinze kola science nga abbayizi 131 bafunye 1 olwo nekudako sst nabayizi 125 abafunye 1 era endala nezidirira
Ono atubulidde ebyabayambyeko okukola obulungi omuli okolera awamu nga abasomesa nga n'abayizi baabade bagala okusoma

Amyuuka omukulu w'esomero Kyaze Paddy awadde abazadde amagezi okwekenenyanga amasomero gye batwala abaana babwe nga kyandibade kyamagezi omwana nasomera musomero elikulembeeza katonda ate erisobola okufulumya omuyizi asobola okubeera omukulembeze nga kino kyekikuumidde amasomero ga seeta ku ntiiko

Omukulu w'esomero Chrispin Namara asiimye abataandisi bamasomero ga seeta olwokubatusaako buli kyebetaaga nga kibayambyeko okuyitiranga wagulu
Ono asabye abayizi abamaliriza eky'omusanvu okusigala nga beyisa bulungi yona gyebanaaba balaze bakuume ekifananyi kya seeta nga kilungi bwatyo nasaba abazadde okubongeera abaana