Education

Aba Kololo High School 3000 Babangudwa kulunaku lwa Careers Day

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Aba Kololo High School 3000 Babangudwa  kulunaku lwa Careers Day
Aba Kololo High School 3000 Babangudwa kulunaku lwa Careers Day

Share


Wakati nga Abayizi Basoma naddala abo abatuuse mumasomera ga Sekondare bakubilibizibwa bulijjo okufuba okulaba nga bakola okusalawo okulungi naddala bwekituuka kwebyo byebagaala okubeera Mubiseera ebyomumaaso batunule mubusobozi bwabwe olwo balyoke balondewo byebanasoma .bino byonna bibadde Mu mulunaku olumanyidwa nga Careers Day kussomero lya Kololo High mukibuga Kampala  

 

Akulila essomero lino Hajat Amina Mukasa Buyinza Agamba kikulu nyo ngabo abakulila Amasomero okufuna obudde nebogerako Nabaana okukuba tooci Mubiseera ebyomumaaso kukiki omuntu kyasobola okufuuka yetaaga kusoma masomo ebirungi nebisomooza ebiri mulugendo mulunyanyimbe kyosobola okuyita Careers Day.

 

Amyuuka omukulu wessomero Lya Kololo High School Omwami Sseviri Hakeem Agamba Abasoma bano batekedwa obutanyooma bitone byabwe katonda byeyabawa wabula bafube bezuule kubanga Bino bisobolela Ddala okusitula omuntu naava mubunkuseere nafuuka owomugaso .

 

 

Tulina Abantu bangi Abasomedde kusomero lino elya Kololo High nga Kati bamanyi ngabamu bakola mu Gavumenti,munyonyi, abasomesa,banamateeka,Abasawo ne Banamawulire kwosa Nabalala ngawemubalabye abaze bwategezeza.

 

Eyasomerako musomero lino nga Kati munamawulire ku TV ya Bukedde akubiliza Abayizi okumanya kyebagaala nobutagwaamu manyi okutuuka nga batuuse kwebyo byebalafubanila ,Nankya Ayogeddeko Eri Abaana kulugendo lwebyensoma bye okutuuka watuuse Kati okufuuka owetutumu nga Maama we yali ayagala asome byamasanyalaze songa ye yali tabyagaala bwatyo Yasalawo okusoma ebyamawulire naye agamba teyejusa kubanga ebirungi bingi byafunyemu newankubade ngamulimu ebisomooza wano newali.

Essomero lino elya Kololo High School lyelimu kwago elisinga abaana abangi ngakati Lilina Abaana 3000 ngabano bava mubintu byekibuga naddala zi Ghetto okuli Kamwokya, Kasubi,kawaala kiwunya nebitundu byonna ebya Ghetto  befubyeeko okusoma ekintu ekizaamu Amanyi

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved