Luganda

Ebugumu lyowa NRM mu Luweero kumubaka omukyala Likanze Aboludda oluvuganya Gavumenti.

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Ebugumu lyowa NRM mu Luweero kumubaka omukyala Likanze Aboludda oluvuganya Gavumenti.
Ebugumu lyowa NRM mu Luweero kumubaka omukyala Likanze Aboludda oluvuganya Gavumenti.

Share


 

 

Wakati nga Tusemberedde ekiseera  kyebyobufuzi Mumwaka Ogujja 2025 Abakulembeze kumitendera egyenjawulo basula Emitima jibewanise nga eyabuliila owolugambo naddala abo Abakulembeze abalonde naye nga tebalina kyebakoledde balonzi  bukya babateeka mubifo.

 

Mu Disitulikiti eye Luweero Eno Ebugumu lyeyongedde nyo naddala mwabo abatunulidde okusigukulula Abakulembeze abaliyo ,onojukira mukulonda kwabonna okwakagwa  mukitundu kye Luweero abaayo basalawo nebalonda Abakulembeze abali kuludda oluvuganya Gavumenti nga wano Ababaka bonna balonda abo abali mukibiina ekya National Unity platform (NUP )olwo aba NRM nebavilaamu awo ngayokya omusota

 

 

Wabula omuganda nga Bwagamba nti bwebindabinda sibwetonya abaayo ngamba mu Luweero banakuwavu bazibu kubanga Bagamba balowooza nti kabawe kubalala omukisa bakulembeleko wabula bukya babalonda Kati Emyaka 4  Embeera yayongela kugotaana ekintu kyebagamba nti Ababaka babwe tewali kyamanyi kyebabakoledde okusinziila ku Ssuubi lyebabalinamu,"Batusuubiza Ensi Neggulu naffe olwo netulonzeesa busungu naye tewali Nkyukakyuka yonna jetulabye Mukiseera kyonna ate Tulaba ba NRM betwasuula ngabakomyewo otuyamba omuvubuka omunyiikavu Kukyaalo Bugga Bwategezezza ".

 

 

Wano wetutukilidde kwomu Kubakunzi ba NRM abamanyi mu Luweero Omwami Sseviri Hakeem okumubuuza kumbeera yebyobufuzi bweyimilidde mu Luweero Ono Asoose tuwa kibbo Kya Nseko nga Bwakuba Nemungaalo nga Agamba nti Elyokanga netonya olwo ne tulaba  Ensisiira bwezenkanya Emyoyo.Emboozi yafe naye ebadde mpanvu ngagamba kilungi abantu benyini balozezaako kukika kyabakulembezze bebalonda era Kati bamanyi kiki ekituufu ekilina okukwolwa bwekituuka kukulonda Abakulembeze.

 

 

 

Sseviri agamba Akikakasa bulungi nga NRM yakuwangulira waggulu akalulu ka 2026 era aba NUP okulemererwa okuwa obukulembeze obulungi kibayambye nyo okweteleza nga NRM nokuddamu okufuna obuganzi anokoddeyo Ensonga Ssemasonga ezavirako NRM okuwangulwa naye Kati wetukoledde eggulile lino zonna agamba bazikozeeko kuzino kuliko ekibba takka kyanyiiza abalonzi, okwemanya,okweyawulamu ,obutatuusa mpeleza mubantu byonna nga Kati betelezeza bulungi okukomyawo Emitima Jabalonzi mu Luweero.

 

 

Ono kukifo kyomubaka omukyala addako mu Luweero agamba Eyavuganya ku Tiketi ya NRM Hon Dr Cissy Mulondo Asensedde Emitima Jabalonzi kubanga bukya awangulwa teyanyiiga wabula yasigala kumuntu wawansi ngamuweleza awatali kwekanya era mbu atambula kyalo ku kyalo nabamu batuuka okulowooza oba ye mubaka omulonde kubanga gwebalonda balwaawo omulabako .

Ebitundu ebirala nga Bamunanika Nabaayo bejjusa olwokusuula Munna NRM Owek Hon Dr JC Muyingo kubanga Omubaka wa NUP gwebalonda tebasanyukira mpeleza ye olwokuvumanga bakulembeze banne abaliko byebyakoledde  ekitundu nga bagamba eneyiisa ye ewebuula ekitiibwa kyabakulembezze .

Emikisa jaabo abawangula mukisanja ekiyise mitono nyo ddala okudamu okuwanguula mu Luweero olwensonga NRM etaddemu amanyi mangi okuzza obuganzi Nenteekateeka nga PDM ,Emyooga abaayo bafunyemu nyo nga Kati Amaaso nessubi babilaba mukibiina Kya NRM 

 

 

 

1027 👁️ 👁️ views…

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved