National

Gavumenti Ewadde Ebiragilo Kunkola ya EMIS Mumasomero Gonna mu Uganda

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Gavumenti Ewadde Ebiragilo Kunkola ya EMIS Mumasomero Gonna  mu Uganda
Gavumenti Ewadde Ebiragilo Kunkola ya EMIS Mumasomero Gonna mu Uganda

Share


Gavumenti etegezeeza ng'okutandika nomwaka gw'ebyenjigiriza ogujja wewatali ssomero ligenda kuweebwa layisinsi nakuwandiisa massomero mapya nga tegali ku mukutu gwa ntekateeka ya EMIS (Education Management Information System).

 

 

 

Minisita Muyingo okwogera bino abadde ku ssomero lya Nakasero primary school mu Kampala mu kuggulawo omusomo gwokusomesa abakulira amasomero ga Primary, Siniiya namatendekero ag'obwananyini ku nkozesa ya EMIS nokumanya ebirungi byojikozesa nga bano bavudde mu Division y'e  Nakawa ne Makindye.

 

 

 

Dr Muyingo era wano ategezeeza nga enzirukanya y’amawulire agakwata ku by’enjigiriza mu ggwanga lino welina okukyuka okudda ku Emis nga  n’olwekyo amasomero gonna ag’obwanannyini n’agavumenti galina okukwatira ddala omukutu guno ogwa EMIS kiyambeko okutekeeratekeera ebyenjigiriza mu ggwanga nga kati abayizi 13,324,050 bebakewandiisa ku mukutu gwa EMIS ng'amasomero ga Gavumenti gegasinze okujumbira entekateeka eno okusinga Ku g'obwananyini.

 

 

 

Dr Muyingo agamba Minisitule y’ebyenjigiriza  kati egaba ssente za capitation grant nga ekozesa data wa EMIS okusinziira ku nnamba z’abayizi eziweereddwayo nolwekyo kikulu okusaayo ebibalo ebituufu 

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved