Luganda

Mukozese Amasanyalaze okukola Emilimu egivaamu Sente Ebyalo 4 mu Katikamu Luweero Bivudde Munzikiza Hon Dr JC Muyingo nabakuba Akaama.

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Mukozese Amasanyalaze okukola Emilimu egivaamu Sente Ebyalo 4 mu Katikamu Luweero Bivudde Munzikiza Hon Dr JC Muyingo nabakuba Akaama.
Mukozese Amasanyalaze okukola Emilimu egivaamu Sente Ebyalo 4 mu Katikamu Luweero Bivudde Munzikiza Hon Dr JC Muyingo nabakuba Akaama.

Share


 

Wakati nga Gavumenti Eno Eri mu buyinza eya National Resistance Movement egenda Maaso Nokusitula obulamu bwabanansi okulaba nga omuntu wawansi asitula obulamu bwe Minisita Omubeezi owebyenjigiliza ebyawaggulu Hon Dr JC Muyingo yomu kwabo abongedde amanyi okulaba nga Abantu babulijo bafuna empeleeza naddala Mukiseera kino nga Ekibiina kiwa embalilila kwebyo byekyasubiza oba kiyite Manifesto week nga ebitongole bya gavumenti byonna bili wali ku Yafeesi ya Ssabaminisita okuwa embalilila.

Minisita Muyingo aliko ebyalo 4 Mwatongozza Amasanyalaze nga kuno kuliko Sempa,Butundu,Lukyamu Saako ne Kito mububaka bwe Eri Abatuuze abategezeza okukozesa Amasanyalaze Gano okukola Emilimu egivaamu Sente Sosi kugatunulila nakunyumya mboozi zabyabufuzi zagambye nti Zino teziyamba kyuusa bulamu bwamuntu yenna .

 

 

Wano abamu kubakulembeze mukitundu kino ekye Katikamu okuli Ssentebe we Gombolola Omulongo Kato Atenderezza Owek Muyingo olwokulumirirwa abantu bonna awatali kwawulamu “Nze wadde ndi kuludda oluwabula Gavumenti siyinza kugaana kulogana Na Hon Muyingo kubanga mukulembeze agatta abantu Ffena awatali kusosola mu langi newankubadde bibiina asitudde Luweero okulaba nga emanyika wonna natakoma okwo nalaba nga omuntu wawansi asembayo akwatibwako kumukono Ssentebe wa Lc 3 Kato Bwategezezza ”

 

 

 

Era wano Owek Muyingo wasinzidde Nasaba Abazadde okulaba nga bafaayo kubaana naddala mu luwumula luno oluwanvu okakasa nga bakumibwa bulungi navumilila Abazadde abatafaayo kubaana nebabaleka okutayaya kubyalo ekintu kyagambye nti kyabulabe kisobora okuvilako abantu bemitima emibi okukulusanya abaana abato nabamu okubatunuza mumakubo ga Sitaani ekintu kyagambye nti kyabulabe.

 

 

Okusinziila ku Alipoota okuva mukitongole Kya Electricity Regulatory Authority (ERA)Kilaga nga kumaka obukadde 8 amakka Akakadde 1.7 Bebalina Amasanyalaze ekitegeeza Enkozesa yamasanyalaze ekyali wansi Ddala wano mu ggwanga lya uganda okwawukanako namawanga Amalala

 

 

 

 

1062 👁️ 👁️ views…

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved