Ettendekero ly’Obulabirizi bwe Mukono, elya Centenary Community College elisangibwa mu Busabadikoni bwe Ndeeba mu District ye Kayunga. Olunaku olwaleero litikidde abayizi 279abakugusse mu bintu eby’enjawulo okuli okulima n’okulunda, okanika, okutunga, amasanyalaze, plumbing, engineering n’ebirala ku mutendera gwa National Diploma ne Certificate, ng’omugenyi omukulu abadde Minister w’abaana n’abavubuka Hon.Balaam Barugahara Ateenyi.
Omukolo gw’okuttikira gutandiise n’okusaba okukulembeddwaamu *Omulabirizi wa Mukono, Kitaffe mu Katonda Enos Kitto Kagodo, ayozaayozeza abatikiddwa okumaliriza emisomo nasiima abazadde abasobodde okufaayo eri abaana babwe, Omulabirizi Kagodo akuutidde abatikiddwa okumanya nti kati munnyo gwansi era bagende bakozesa byebayize basobole okubeera ab’omugaso mu ggwanga.
Bp. Enos Kitto Kagodo era akuutidde abayizi bano okugatta Mukama Katonda ku buyigirize ne kumagezi gabwe gebafunye, *obuteyagaliza bokka na bokka , obuterabira ttendekero lino elibafudde kyebali ate era okubeera eky’okulabirako eri abalala.
Omulabirizi asinzidde eno nasaba Government okukwatirako ku mattendekero g’obwannayini n’ebikozesebwa kubanga gakola omulimu munene mu kubangula abaana b’eggwanga.
Minister w’abaana n’abavubuka Hon.Balaam Barugahara Ateenyi, akuutidde abatikiddwa okutekesa munkola byebayize, *okuddayo okusoma bongere ku byebasomye* , okwenyigira mu nkola za gavumenti zonna, okukozesa ebibetoredde okubaako kyebekolera n’okwewala okukyakala okungi n’okunywa ebiragalalagala ebiyinza okubaviirako endwadde n’ezigotannya entekateeka zabwe zonna.
Hon.Balaam era atenderezza nnyo e Kanisa ya Uganda naddala Obulabirizi bwe Mukono okuyita mu *Bishop Enos Kitto Kagodo, olw’okuwagira n’okutekesa mu nkola programme za government zonna, agamba nga Government bakwongera okuwagira amattendekero ge Kanisa gonna naddala ag’ebyemikono, kubanga gasomesa omuntu okubaako kyeyetandikirawo nga kino kiyamba nnyo okumalawo obumenyi bwa mateeka obuva ku bbula ly’emirimu.
Dr.Oyirwoth Osborn akulira ettendekero lino, agamba wabaddewo okweyongera ku bayizi mu ttendekero lino , basobodde okwongera ku mutindo gw’ebizimbe, bataddewo internet okwanguyiza ku bayizi mu kunonyereza era bali munteekateeka z’okumaliriza Computer ne Science laboratory. Dr.Osborn era alopedde Omulabirizi Kagodo okusomooza kwebayitamu okuli obutaba nantambula nga kino kibasomooza nnyo naddala mu biseera bya Practicals.
Omusumba w’ekitimbwa mu Busabadikoni bwe Bbaale. Rev.Esau Zziwa omu ku batikiddwa, nga akugusse mu kulabirira ebitonde omuli ebisolo n’ebimera, akuutidde basumba banne obutalowoleza kubuulira njiri yokka wabula baddeyo basome ebintu eby’enjawulo kibayambe okubaako kyebakola nga tebatunulidde Kanisa yokka.
Guno mulundi gwakuna (4) nga ettendekero lino litikkira abayizi ab'ekika kino bukya litandikibwaawo .* Ku mukolo guno, *Omulabirizi Kagodo* ne Minister Balaam batongoza strategic plan ey'emyaaka ettaano (5) y'ettendekero lino.
814 👁️ 👁️ views…