Luganda

Mwekenenye Obubonero Bwemugaba mu New Curriculum Hon Sekabira Agugumbudde Gavumenti

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Mwekenenye Obubonero Bwemugaba mu New Curriculum Hon Sekabira Agugumbudde Gavumenti
Mwekenenye Obubonero Bwemugaba mu New Curriculum Hon Sekabira Agugumbudde Gavumenti

Share


Ministry yebyenjigiliza wano mu gwanga elaze nga bwegenda okudamu okwekenenya ensonga yobubonero obwagerekebwa eli abayiizi abagenda okusoma obusawo mumatendekero gawaggulu nadala abo abatuula ebigezo byabwe ebyakamalilizo wansi wenteekateka za new curriculum.

 

 

kino kidilidde ensisinkano abadedwo nabakungu ba ministry yebyenjigiliza, nebekikwatako okutanya okwemulugunya okwaretebwa mu parliament omubaka wa katikamu north Dennis  sekabira bweyalaga nga abayizii abawerako bwebandisulibwa ettale nebatasobola kweyunga mumatendekero gawagulu olwobubonelo obwagerekebwa ministry yebyenjigiliza.

 

omubaka sekabila yalagga nga okuyingila etendekero lyobusawo kumutendela gwawagulu  omuyiizii bweyalina okuba nobubonelo obwesimba bwalina okuba nabwo mu curriculum enkadde wabula mweno empaya waliwo ebilumila munsengeka yobubonero buno.


Mugisha Moses Okwela nga musawo era musomesa  agamba nti kyenyamiza okubanga abayizi abagala okusoma obusawo basibwako embeera eno era ono nasaba ministry yebyenjigiliza okukola  ekisoboka okusobozesa abayiizi okwetaba mukusoma amasomo gebagala.

 


Denis sekabila omubaka wa katikamu north mumbela eno alaze nti kekaseera gavumenti okusokanga okwekenenya amateeka Gekyusa nga tenagasa munkola okusobozesa okukendeeza embeera yokutulugunya banansi nga bwekibadde kitandise mubasawo.

 

 


Andrew Mugisha ssabawandiisi  wakakiiko akataba bananyini masomero gabasawo mugwanga asinzidde munsisinkano eno nalaga nga govt bwegenda okudamu okwekenenya ensonga eno.

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved