Luganda

MWEKWAATE KUMUTINDO GWA CURRICULUM EMPYA MINISITA MUYINGO AKALATIDDE AMASOMERO BWABADE KU ST JOSEPH S S NAMAGUNGA NGEWEZA E'MYAKA 25

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


MWEKWAATE KUMUTINDO GWA CURRICULUM EMPYA MINISITA MUYINGO AKALATIDDE AMASOMERO  BWABADE KU ST JOSEPH S S NAMAGUNGA NGEWEZA E'MYAKA 25
MWEKWAATE KUMUTINDO GWA CURRICULUM EMPYA MINISITA MUYINGO AKALATIDDE AMASOMERO BWABADE KU ST JOSEPH S S NAMAGUNGA NGEWEZA E'MYAKA 25

Share


Minister Mu Gavumenti Avunanyizibwa Ku By'enjigiriza Eby'amatendekero Aga Waggulu Owek Hon Dr John Chrysostom Muyingo Agugumbudde Amasomero Ga Senior Wonna Mu Ggwanga Agakyalemedde Ku Nsomesa Enkadde ( Old Carriculum) Kyokka Nga Kati Emyaka Gisobye Mu Ena Bukyanga Nsomesa Mpya ( New Carriculum) Ereetebwa Gavumenti Nga Eyita Mu Ministry Evunanyizibwa Ku By'enjigiriza N'ebyemizannyo Mu Ggwanga, Nekigendererwa Ekyokufulumya Abayizi Nga Balina Obukugu Obubeetaagisa Mu Nsi Eno Ejjudde Okuvuganya Naddala Mu Katale Ak'ebyemirimu.

 

 


Minister Muyingo Asinzidde Ku Ssomero Lya St Joseph's High School Namagunga Ku Bikujjuko Eby'emyaka 25 Bukyanga Litandikibwawo, Nategeeza Nga Ministry Evunanyizibwa Ku By'enjigiriza Bwetajja Kuttira Ku Liiso Masomero Agakyalemedde Ku Nsomesa Enkadde, Gaayogeddeko Nga Agafiiriza Obufiiriza Abayizi N'okuboonoonera Ebiseera Byabwe.

Agguddewo Ebizimbe Ggaggadde  Bibiri Ebipya Okubadde Jubilee Block Nga Kino Kiriko Ekisulo Ky'abayizi Abalenzi, Staff Room Ne Tterekero Ly'ebitabo Awamu N'ekizimbe Martyrs Hall Kwossa Okutema Evvuunike Era Ery'ekizimbe Ekirala Ekigenda Okuwemmenta Ensimbi Obuwumbi Bubiri N'ekitundu.

 

 

Wano Akulira Essomero Lino Ritah Nassaza Agamba Mu Myaka 25 Basobodde Okuvuganya Ku Mutendera Gw'eggwanga Mu By'enjigiriza Kko Wamu N'ebyemizannyo.

 


Emikolo Gyatandise N'akitambiro Kya Misa Ekyakulembeddwamu Omugenyi Ow'enjawulo Era Vicar General W'essaza Ly'ekelezia Erye Lugazi Msgr Richard Kayondo Nga Yakuutidde Abaddukanya Essomero Lino Obutekkiriranya Mu Ngeri Yonna Ku By'omutindo N'abasaba Okuyaayanira Ekisingawo Mu Myaka 25 Egiddako.

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved