Luganda

Temugeza nemusomesa Abaana Muluwumula Munkukutu Minisita Muyingo Alabudde Abazadde.

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Temugeza nemusomesa Abaana Muluwumula Munkukutu Minisita Muyingo Alabudde Abazadde.
Temugeza nemusomesa Abaana Muluwumula Munkukutu Minisita Muyingo Alabudde Abazadde.

Share


 

 

Wakati nga Egwanga lya Uganda liyingidde mu Luwumula Oluwunziika Omwaka gwa 2024 Minisita Omubeezi owebyenjigiliza eby'amatendekero agawaggulu Hon Dr JC Muyingo avuddeyo Nategeeza Abazadde Nga bwekimenya Amateeka okusomesa omwana Mukiseera ekyoluwumula naddala Luno olusembayo mu Mwaka Abaana batekwa kuba wakka kukola byawakka okufuna akadde akawumuza obwongo okusobola okukula obulungi, kubanga Abazadde bangi bakukuta Nabasomesa okufunila Abaana okusomesa okwenjawulo ekintu kyagamba nti Sikituufu yadde .

 

 

Bino Byonna byogedwa mububaka bwe obumwetikidwa omuyambi we  Omulongo Waswa Abdulkarrim Tamale amukikilidde Kumukolo gwa Mattikila ga Mwana Muwala Nakisitu Esther ngono akonodde Bachelors Degree in Social Administration ku Ttendekero lya Kyambogo University Mukutikila Abayizi okugenda Maaso Mukiseera kino nga babadde Mumakka Gomwami Ssengendo Ronald Atuula E' Wampeewo Kasangati Disitulikiti ye Wakiso .

 

 

Era Mububaka bwa Minisita Muyingo ajukiza Abazadde kubuvunanyizibwa bwabwe obwokulaba nga Bakuuma Abaana nga Golodi Mukiseera kino okakasa nga Abantu bemitima emibi tebatuuka kubaana wabula era nabakutiila okukozesa ekiseera kino okubayigiliza Emilimu jawaka,okubasomesa eddini nga babatwala mumasinzizo buli omu nenzikiliza ye ,Empisa Zomubantu Nokakasa nga bafuna okulabililwa obulungi okutuusa okusoma wekulidamu Omwaka ogujja .

 

 

 

Wano Omwana omuwala atikidwa Nakisitu Mububaka bwe Akutiidde Abantu Bonna obutagwaamu Ssuubi singa baba bafunye ebisomooza wabula basigale nga batunulidde okutuuka kubuwanguzi nawa ekyokulabilako nga bweyasanga obuzibu Mukiseera Mukiseera kyomuggalo gwa COVID-19 nga wano yatuula Omwaka Mulamba nga Tasoma naye olwokuba yali Alina ekigendererwa yasobola  okudamu nasoma okutuuka wamazeeko nafuuka Muwanguzi.

 

 

Omwami Ssengendo Akutiidde Abazadde bonna okukola enyo okulaba nga basomesa Abaana mubuli mbeera “Sinze abadde Omuggaga enyo era omulimu gwange ogwokuvuga Emotoka sigwamanyi nyo naye Nsobodde okutoba okulaba nga Nsomesa omwana Bwategezezza”

Omwaka Guno Kyambogo university etikidde Abaana 11,721 nga 5,704 Balenzi ate 6,017 Baana Bawala

 

 

 

315 👁️ 👁️ views…

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved