National

Twesunze nyo Abaana ba curriculum Empya Deputy Speaker Rt Hon Thomas Tayebwa Akyadde Ku Seeta High School Muba S4

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Twesunze nyo Abaana ba curriculum Empya Deputy Speaker Rt Hon Thomas Tayebwa Akyadde Ku Seeta High School Muba S4
Twesunze nyo Abaana ba curriculum Empya Deputy Speaker Rt Hon Thomas Tayebwa Akyadde Ku Seeta High School Muba S4

Share


Amyuka Omukubiriza W'olukiiko Lw'eggwanga Olukulu Rt. Hon Thomas Tayebwa Bangirana  Alaze Obwetaavu Eri Abazadde Wonna Mu Ggwanga Okufuba Okubeera Abasaale Mukuwa Abaana Ebyetaago Naddala Ebyo Ebikozesebwa Mu Nsoma Empya (new Carriculum) Eriwo Ku Mutendera Ogwa Senior Gyayogeddeko Nga Ejja Okubayamba Okuvuganya Obulungi Mu Katale K'emirimu Wonna Okwetooloola Ensi.

 

 

 

Thomas Tayebwa Bino Abyogeredde Ku Ssomero Lya Seeta High School Mbalala Mukono Wakati Mu Misa  Eyeetabiddwamu Abazadde , Abasomesa N'abayizi Ebadde  Ey'okusabira Abayizi Aba Senior Oyokuna Abagenda Okutandika Ebigezo Byabwe Ebyakamalirizo Ebitegekebwa Ekitongole Ky'ebigezo Ekya Uneb N'ategeeza Nti Abazadde Wonna Mu Ggwanga Baalikwatidde Wamu N'amasomero  Mu Kuteekateeka Abaana  Mu Nsomesa Empya Ewa Obukugu Abayizi Obujja Okubayamba Okutangaaza Ebiseera Byabwe Ebyomumaaso,"Enambika Empya tujjagadde nyo nga Gavumenti era mwe Abaana abasoose tubesunze nyo Kubanga muli kyafaayo munteekateka Eno Hon Tayebwa "

 

 

 

Ye Omukulu W'essomero Lino Erya Seeta High School Mbalala Mukono Bonifance Ssebukalu Aliko Bingi Byannyonnyodde Ku Ngeri Gyebateeseteeseemu Abayizi Bano Abagenda Okutuula Ebibuuzo Ebisookedde Ddala Mu Nsomesa Empya, nagamba bakizudde ngeyamba nyo omuyizi okuba owomuggaso era afuluma essomero ngaliko kyamanyi okusobola okumalako nobulamu bwensi okwawukanako nenkadde nga Abaana ebintu babadde babikwata bukusu 

 

Ye Akulembeddemu Ekitambiro Kya Misa Rev Fr.masaaba John Okuva  Mu Kigo Ekya St. Marys Parish Malongwe Mu District Ye Buikwe Asabye Abayizi Okwekwasa Omukama Okusobola Okuwangula Mu Buli Kimu Kwossa Okuteeka Mu Nkola Byebasomye.

 

 

 

Ku Seeta High School Green Campus  E Mukono Nayo Abayizi 225 Bateekeddwa Mu Mikono Gya Katonda Wakati Mu Kitambiro  Kya Misa Ekulembeddwamu Omusosodooti Omuminsani Rev. Fr. Anthony Chuku Okuva Mu Kigo Ekyekiggwa Kya'bajulizi E Namugongo  Ono Nga Asabye Abayizi  Okukola Ennyo Ate Beekwate Omukama kubanga Yasinga Amanyi nanyonyola omugaso gwokusabila Abaana kubanga essomero lisobola okusomesa Abaana nga bagezi naye ebintu ngendwadde bisobola omulumba nolwekyo amanyi gakatonda gegatangila ebintu ngebyo 

 

Ye  Paul Alibundi Omukulu W'essomero Lino Erya Seeta High School Green Campus Agambye Nti Newakubadde Abayizi Baatawanyizibwa Ekirwadde Kya Covid-19 Bwebaali Bayingira Mu Senior Esooka , Basobodde Okuteekebwateekebwa Obulungi Ku Mutindo Ogwetaagisa.

 

 

Ku Seeta High School A level campus nayo basabidde abayizi ba S4 nga Babadde basuka mu 300, okusaba kukulembedwamu Rev Father Deogratious Kateregga Kiibi nga ye Bwana Mukulu we Mpigi Ono akalatidde Abasomesa okufuba okulaba nga Bawasa ekintu kyagambye nti kilungi okusobola okwewala ebikemo ebiyinza okuja mubulamu bwabasomesa abamu nebatuukka okusiwuuka Empisa okukaka abasomi omukwano,Takomye okwo alabudde Abayizi kundwadde nga Mukenenya wabula Basooke Basome olwo amasanyu gensi baligansanga 

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved