Bajjaja Ffe Abasooka Babilaba Olwo Nebagera Olugero Olugamba Nti Elyokanga Nettonya Netulaba Ensisiira Bwezenkanya Emyoyo Bwebityo Nemukulonda Okwagwa 2021 Bwekyali Ababaka Okuva Kuludda Oluvuganya Gavumenti webattunka Nekibiina Kya Nrm Ngabano Okusinga Ba National Unity Platform (Nup) Bawanguula Akalulu Wama Gwe Nebakataga .
Mungeri Yokufuna Obuganzi Ababaka Ba Nup Bakozesa Obugambo Obuwooma era Obuzaamu Esuubi Ngera Ddala Wobawulilako Tolema Kubawagila .
Mubudde buno Nga E'kiseera Kyabwe Kiweddeko Ekyekisanja Kino Abamu Amameeme Gogende Okubakuba Ngobuzibu Buva Kuba Ngebyo Byebeyama Okukola Abamu Mpaawo Kyebakozeko Ekintu Ekiletedde Abalonzi Okukuba Ebituli Mubusobozi Bwabwe Ngera Balinda Lunaku Lwakulonda Balage Obuyinza Bwabwe .
Tuliko Ebitundu Mwetukoze Okunonyereza Ngabino Mwalimu Ababaka Okuva Mu Nrm Nabamu Ngabaali Ba Minisita Mukaseera Webawangulwa Era Bino Byetukufunidde Naddala Abo Abalina Emikisa Okudda Mu Palamenti Omwaka Ogujja 2026.

Wano Katusokere Mu Ssaza lye Bamunanika Mu Luweero Disitulikiti,eno Mukisanja Ekyayita Baali Bakulemberwa Hon Min Dr Jc Muyingo Nga Yakulila Ebyenjigiliza Ebyamatendekero Agawaggulu ,ono Newankubade Yakolera Nyo Abaayo Tebamulabya KuKalulu Olwo Nebakawa Eyali Omuyambi We Hon Robert Ssekitoleeko Nga Yadda Mukibiina Kya Nup Bwatyo Nasobola okuwanguula

Bano Abaayo Gebakaaba Gebakomba Kubanga Bagamba Bukya Balonda Mubaka Wabwe Ssekitoleeko Mpaawo Kyabakoledde Yadde Okubateseeza Mu Palamenti,Naye Ate Gwebatalonda Muyingo Gwebalaba Wonna Nga Akola Emilimu Egiyamba Banansi Era Emikisa Ja Hon Ssekitoleeko Mitono Ddala Okudamu Okuwanguula Bamunanika Wabula Min Muyingo Abantu Bamwagadde Nyo Nokusingawo.

Wano Tudda Mu Disitulikiti Ye Mityana Kukifo Kyomubaka omukyala Eno waali Wakulembelwa Minisita Webyettaka Hon Judith Nabakooba.
Etutumu Lya Munamawulire Era Ngayajila Ku Tiketi Ya Nup Hon Joyce Bagala Lyasendasenda Emeeme Zabalonzi Okukakana Nga Akalulu Bagala Akawuuse Buva Wabula Kyebasubira Abaayo Bagamba Sikyebafuna Kubanga Bamulinamu Esuubi Ngomuntu Asobola Okwogera Yali Wakutuusa Dddobozi Lyabwe Mu Palamenti Nti Naye Weyatuukayo Alina Engeri Javumbeera Nebamalamu Amanyi.

Newankubade Abe Mityana Abamu Bagamba Agezezaako Naye Era Bebamu Bagamba Wakili Nabakooba Yali Asinga Nolwekyo Bakakasa Nga Kuluno Gwebagenda Okuwa Akalulu Ka 2026.

Wano Nkutwalako Mu Mukono North Constituency Ngawaliyo Eyali Minisita Ronald Kibuule Ono Munna Nup Hon Abdalah Kiwanuka Mulima mayuuni Yeyamuwanguula Abe Mukono Bagamba Minisita Ono Yalimu Elyanyi Lyekivubuka Lingi Ngelimu Yalikozesanga Nawateetagiisa Wabula Mbu Bakilabye Nga Akaseera Kebamuwumuza Kukatebe Yeyongedde Okuba Omuntu Omukakamu Era Owempisa Ngakati Basobola Okumuzaayo Mu Palamenti Abakilile Kubanga Yali Takola Bubi Naye Ensonga Ezo Waggulu Zamuviirako Kinene Nyo Okumusuula

kumubaka Aliyo Kiwanuka Bagamba Takoze Bubi Nyo Mu Palamenti Bamulengerayo Naye Ngabo Wansi Tebamufunyemu Nyo Okujako Ekibiina Kya Nup Okubayamba Mubya Mateeka Nolwekyo Kilaga Hon Kibuule Emikisa Je Ejokuwanguula Gili Waggulu Nyo.

Wetuvaayo Tukutwalako Mu Mawokota North Eyali Eya Minisita Hon Ameria Kyambadde Ngayawangulwa Munna Nup Hon Hilary Kiyaga Amanyidwa Nga Mazongoto

abaayo Nabo Tebawukanye Nyo Kukili Ewalala Ngabagamba Kituufu Bamulengera Mu Palamenti Naye Omuntu Wawansi Tafunye Nyo Mukukililwa Kwe Nolwekyo Bafundaako Ne Ameria Kubanga Teyali Mubaka Mubi Songa Bagamba Mukaseera Kano Kabadde Kukatebe Ayongedde Nyo Okudda Mubantu Bawansi Namanya Nyo Ebibaluma Nolwekyo Hon Ameria Kyambadde Emikisa Je Ejokuwanguula Gili Waggulu Kubanga Nalina Tiketi Ya Nup Ekibiina Kimuyuuya Okukamala Ekyongera Amanyi Owa Nrm Okuyitawo
Olukalala Lukyali Luwanvu Era Tugenda Kwongera Abalala Abalina Emikisa Jokudamu Okuwanguula.