Luganda

KCCA Yanzikiliza Byonna Bili Mu Pulaani Omuggaga womukampala Hamis Kiggundu ajeeyo Bwiino Kubulimba obutambuzibwa

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


KCCA Yanzikiliza Byonna Bili Mu Pulaani Omuggaga womukampala Hamis Kiggundu ajeeyo Bwiino Kubulimba obutambuzibwa
KCCA Yanzikiliza Byonna Bili Mu Pulaani Omuggaga womukampala Hamis Kiggundu ajeeyo Bwiino Kubulimba obutambuzibwa

Share


Omusuubuzi w’omu Kampala Hamis Kiggundu amanyiddwa ennyo nga Ham avuddeyo natangaaza ku nsonga zokuzimba ku mwala gw’e Nakivubo oluvanynuma lw’abantu ab’enjawulo okuli nabalwanirizi b’obutonde bw’Ensi okuvaayo nebekubira enduulu.

 

 

Ekiwandiiko ekivudde mu Kkampuni ya Kiggundu eya Ham Enterprises kiraga nti ebizimbibwa byebimu byateekebwateekebwa mu kuddamu okuzimba ekisaawe ky’e Nakivubo okusobola okutumbula endabika y’e Kibuga. Ayongerako nti pulojekiti eno yakirizibwa ekitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority - KCCA nti nabwekityo abo ababitambuza nti ebikolebwa tebiri mu mateeka benoonyeza byabwe.

 

 

Ham agamba nti ebikolebwa tebiyamba kisaawe kya Hamz Nakivubo Stadium nti wabula nenkulaakulana y’ekitundu n’abantu bonna okutwalira awamu. 

 

 

Ham era asambazze ebitambuzibwa nti n’amataba agasazeeko akatale ka St. Balikuddembe ku lwomukaaga nti gavudde kukuzimba ku mwala gw’e Nakivubo nga agamba nti byonna ebizimbiddwa tebirina webikoseza ntambula y’amazzi kuba galekeddwawo ekkubo wegayita nga wagazi ekimala.

 

 

Ham ayongerako nti abo bonna abekwasa byazimba nti byebivuddeko amataba beebo abalabira okumpi ensonga kuba amataba n’ensonga y’obutonde bw’ensi kifuuse ekizibu eri Eggwanga lyonna.

 

 

Kiggundu asabye Bannayuganda okukwasiza awamu naye nga bwebawagira n’ekitongole kya KCCA okulaba nti kikulaakulanya ekibuga. Ayongerako nti tusaanye okwaniriza emikisa egiba gireeteddwa okulaba nti watondebwawo emirimu n’enkulaakulana okusobola okukuza ekibuga ekyeyagaza.

 

 

Kinajukirwa Omuggaga Ham aliko enkulakulana eyenjawulo Gyaze akola mukibuga Kampala wabula abantu abenjawulo bazze bamusimbiila amakuuli omuli Bana byabufuzi Abamu, abantu Ssekino abalina obujja Kubanga wotunulila omulamwa gwe ebiseera byonna kwekulaba nga akyuusa uganda Naddala ekibuga Kampala okutukana nomutindo.

 

Kubamu betwogeddeko Nabo ffe nga Kampala Media TV naddala Bana Kampala Bagamba Omuggaga byakola birungi era babisanyukila wabula watekwa okubaawo Nempuliziganya enungi Eri obukulembeze bwonna gamba nga KCCA,Aba Owino, Ekeleziya Katulika nabuli yenna akwatibwako Ensonga olwo Embeera edde Munteeko.

 

 

 

9015 👁️ 👁️ views…

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved