Luganda

Mukomye enyambala embi Mumasomero Minisita Muyingo Awezze Enkunamyo Mubazadde Nabaana.

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Mukomye enyambala embi Mumasomero Minisita Muyingo Awezze Enkunamyo Mubazadde Nabaana.
Mukomye enyambala embi Mumasomero Minisita Muyingo Awezze Enkunamyo Mubazadde Nabaana.

Share


 

 

Minisita  mu Gavumenti eya Wakati Omubeezi avunanyizibwa ku ebyenjigiriza eby'amatendekero aga waggulu Owek Hon Dr JC MUYINGO alabudde abaddukanya Amasomero okufuba mu ngeri esoboka okulwanyisa ennyambala embi ku masomero emirundi egisingà ereetebwa Abagenyi abakyala ku masomero, okuli nabazadde nagamba nti Ministry y'ebyenjigiriza kikafuuwe okutunula obutunuzi nga Abantu bano basiga obuseegu mu bayizi,"Mbasaba munnegateko tulwanyise ennyambala embi era eyesitazza Mumasomero wabula namwe Abazadde abali wano Mbasaba mubeere Kyakulabilako eri Abaana baffe ewakka olwo kijja tuyamba okubeera negwanga elilimu ensa Dr Muyingo Bwategezezza "

Owek Muyingo Asinzidde ku ssomero lya STENA JUNIOR SCHOOL wali e Lukuli Nanganda mu Kampala ku bikujjuko ebiggaddewo olusoma olukomekkereza Omwaka neyebaza Omutandisi we ssomero lino era nga ye Ssaabawolereza wa Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka Owek. Christopher Bwanika olwokunyikiza mu miti emito ensomesa empya esobodde okuwa Abaana obukugu obwo obunaabayimirizaawo mu biseera ebijja.

 

Ye Omutandisi we ssomero lino Owek. Christopher Bwanika

Agamba ensomesa empya eyambye abayizi okubeera abayiiya enyo, nga nebintu ebitunuulirwa nga ebitalina mugaso okugeza nga Kasasiro basobodde okubikolamu ebintu  ebyomuwendo bingi.

Owek Christopher Bwanika asiimye nnyo Owek Dr JC Muyingo olwe ttaffaali lyatadde ku byenjigiriza bya Uganda.

 

Ku bikujjuko Bino ABAYIZI aba Top class baweereddwa amabaluwa gaabwe agabatwala ku mutendera ogwa Primary ssonga abakozi be ssomero lino nga bakulembeddwamu omukulu wessomero Joyce Nakayima  Kahangi Nabo bawereddwa ebirabo namabaasa agabasiima olwobuweereza obulungi.

 

 

 

1048 👁️👁️ views…

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved