Luganda

Ministry evunanyizibwa ku byo bulamu eraze byesobodde okukola bukya nga gavument ya NRM egya buyinza.

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Ministry evunanyizibwa ku byo bulamu eraze byesobodde okukola bukya nga gavument ya NRM egya buyinza.
Ministry evunanyizibwa ku byo bulamu eraze byesobodde okukola bukya nga gavument ya NRM egya buyinza.

Share


 

Ministry eno bino ebiragidde mu Sabiti ya Manifesto ya NRM egenda mu maso mu yafesi zo mukulembeze  we ggwanga mu Kampala nga wano buli ministry eraga byekoze   kwebyo byeyeyama okukola mu kisanja kino ekya 2021/2026.

 

 

 

Minister avunanyizibwa ku byobulamu Dr Ruth Aceng agamba nti gavument eno bukya nga egya buyinza endwadde nyingi ezatawanyanga banauganda zatuulwa ku nfete nga bayita mukuzigema no kuzijanjaba.

Wano era ategezeza nga bwebasobodde okuzimba amalwaliro, okukola edagala, okugula ebyuma ebikebera ne bijanjaba endwadde.

 

 

Minister agenze mu maso nategeza nga bwebasobodde okwongera ku bungi bwa basawo no kwongera ku misaala gyabwe nga gyebuvudeko kino kibadde kireteera abasawo okwediima naye kati bakinogedde edagala.

 

 

 

Mungeri yemu minister Dr Ruth Aceng agenze mu maso nategeza nga omulamwa gwokumalawo akawuka akaleeta Mukenya mu 2030 bwebagukwasiza manyi nga bongera amanyi mukukebera abantu, okubakubiriza okwetanira okwekebeza

 

 

Agambye nti akawuka kano keyongedde okwegirisiza banauganda abali wakati we myaka 14 na 24, bwatyo nasaba banauganda okwongera okukwatira awamu mukulwanyisa mukenenya nga bakola ebyo ebimuziyinza okusasana.

 

 

 

 

703 👁️ 👁️ views…

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

Tagged In

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved