Luganda

Mugende Musome Mukomewo Mukyuuse Uganda 94 Bagenze Algeria Ku Sikaala Min Muyingo Abasindiise kulwa Gavumenti

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Mugende Musome Mukomewo Mukyuuse Uganda 94 Bagenze Algeria Ku Sikaala Min Muyingo Abasindiise kulwa Gavumenti
Mugende Musome Mukomewo Mukyuuse Uganda 94 Bagenze Algeria Ku Sikaala Min Muyingo Abasindiise kulwa Gavumenti

Share


Ministry Mu Gavumenti Eyawakati Evunanyizibwa Ku By'enjigiriza N'ebyemizannyo Akawungeezi Ka Leero Eriko Ekibinja Ky'abayizi 94 Beesiibudde Okugenda Mu Ggwanga Lya Algeria  Okusoma , Oluvannyuma  Lw'okuweebwa Sikaala Gavumenti Y'eggwanga Erya Algeria Nga Ekolaganira Wamu Ne Gavumenti Ya Uganda Nga Abayizi Bano Kitundu Kwabo  E 270 Abagenda Okugenda Mu Algeria Kyokka Nga Bannaabwe Abalala Bakyasunsulwa.

 

 

 

Bwabadde Asiibula Abayizi Bano Wali Ku National Archives And Records Centre E Wandegeya Mu Kampala, Minister Omubeezi Owebyenjigiriza Eby'amatendekero Aga Waggulu Owek Hon Dr John Chrysostom Muyingo  Akalaatidde Abayizi Bano Okunywerera Ku Kibatutte, Basome Bamaleko Ate Boolese Empisa , N'abajjukiza Nti Bwebamalako Emisomo Gyabwe Bakomewo Mu Ggwanga  Benyigire Mu Kulikulaakulanya.


"Ffe Nga Gavumenti Tugenda Kola Kyonna Ekisoboka Okulaba Nga Tubawaggila Nolwekyo Namwe Museeyo Omwoyo Mubyonna Byemusoma Olwo Mukyuse Egwanga Lyaffe Dr Muyingo Bwategezezza Bana Mukisa Bano"

Bano Babuganye Esanyu Olwa Minisita Muyingo Okubategeeza Nga Gavumenti Ngeyita Mu Minisitule Tebyenjigiriza Bwegenda Okubaawa Nga Sente Zokukozesa Doola Za America 200$ Buli Mwezi Nga Muzawano Mulimu 740000 Ugshs Zino Zibayambeko Okugula Buli Kyebetaaga Nokwewala Okuwankawanka Nolwekyo Nabategeeza Obutabaako Kyekwaso .

Ye Commissioner Akwatibwako Ensonga Za Sikaala Mu Ministry Eyebyenjigiriza Muzamiru Mukwatampola Awadde Amagezi Abayizi Bano 
Okufuba Obuteerabira Buwangwa Bwabwe,   Beewale N'okwenyigira Mu Mize Egiyinza Okubatwala Mu Kkomera .

Abaana Bano Basiimye Nyo Gavumenti Ya Nrm Olwokufaayo Okutumbula Ebyenjigiriza Nebakakasa Nga Bwebagenda Okusaayo Omwoyo Wakati Mumisono Jabwe Nebebaza Omukulembeze Wegwangwa He Yoweri Kaguta Museveni, Minisita Hon Janet Kataha Museveni Saako Ne Dr Jc Muyingo Olwokufaayo Bulijjo.

 

 


Abasomerako Mumawanga Gano Ngabayita Munkola Eno Bakubiliza Banabwe Okubeera Abaguminkiliza Olwebisoomoza Byebagenda Okusanga Mumawanga Gano Baleme Kuba Bantondo Beweeyo Bayige Ennimi Ezikozesebwa ,emmere Nabyonna Ebipya Byebagenda Okulaba Ngolwo Webanaguma Kijja Kubayamba Okuwanguula Obulungi.

 

 

 

Manya Bino Sikaala Zino Ziwebwa Bana Uganda Abasunsudwa Nebayitamu Era Ebisare Byokusoma Bisasulwa Gavumenti Ya Algeria,awokusula Saako Nemmere Ngabyonna Byabwerere

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved