Luganda

Mutuyambe Sibilungi Abessomero lya Nambi Umea primary School mu Luweero Balajanidde Gavumenti.

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Mutuyambe Sibilungi Abessomero lya Nambi Umea primary School mu Luweero Balajanidde Gavumenti.
Mutuyambe Sibilungi Abessomero lya Nambi Umea primary School mu Luweero Balajanidde Gavumenti.

Share


 

Abakulembeze bessomero lya Nambi Umea Primary nga lisangibwa Mu Gombolola ye Zirobwe mu Ssaza Lye Bamunanika Disitulikiti ye Luweero bavuddeyo nebawanjagila Gavumenti okuvaayo ebeeko kyekolawo kulwembeera embi essomero lino mwerili nga ebasuza Bakukunadde nga Lumonde Mukikata .

 

 

 

Bino byonna bibaddewo oluvanyuma lwa  bakulembeze kumitendera ejjenjawulo okulajaana,Wano omukwanaganya wa ONC mutundutundu lye Luweero Era Omuyambi wa Minisita Omubeezi owebyenjigiliza ebyawaggulu Owek Hon Dr JC Muyingo  Omulongo Waswa Abdulkarrim Tamale asitukiddemu ngeyatega ogwekyaayi natalinda kiwundu kusamba ddagala nagenda ku Nambi Umea Primary School okwekanya embeera Bweri 

 

 

Omulongo Waswa Abdulkarrim Tamale kimuweddeko olwebyo byasanze musomero lino okuli okuba nga ebizimbe bili mumbeera Mbi Ddala ,Abaana Abamu Tebalina wakutuula, kabuyonjo yabaana abalenzi yajjula ngakati bonna bagabana emu okuli nabasomesa ekintu ekyobulabe enyo nyini

 

 

Okusinziila kumukulu wessomero lino Omukyala Katayike Tibah Agamba ye nga omukulu wessomero Ali mukutya okwamanyi nga yetaaga bekikwataako basitukikemu Bataase Embeera.

 

 

 Gavumenti Ebimu ebituyambyeko omuli okutuwa abasomesa Nabamu okubasasula wabula Embeera Abaana mwebasomera Sinungi.

Katayike Agenze Maaso nategeeza nti Omwaka oguwedde Balina Abaana 500 wabula nga Omwaka Guno bangi tebanada Bakyali waka nga Kati abakayingila Mubitabo byesomero Bali mu 300 nga agamba oba olyawo Abazadde Balina okutya okukomyawo Abaana Babwe nga Abasinga Bakyali waka ekintu ekitali kilungi Mubulamu Bwabaana Baano.

 

 

Wano webasabidde Owek Dr John Chrysostom Muyingo nti  newankubadde ye avunanyizibwa ku matendekero ga waggulu, naye basaba abadduukirire kubanga aludde nga y'abamanyidde ennaku nga negyebuvuddeko yabadduukirira n'amabaati agasoba mu 100 gebaakozesa okusereka ekimu ku Bizimbe ebiri ku ssomero lino

 

 

Wano  Atwaala ONC regional coordinator mu Luweero Waswa Abdulkarrim Tamale Ategezeza nga bwatandiise okwogeleza nebekikwataako mbagilawo basitukilemu Bataase Embeera ya Nambi Umea Primary School era byonna ebinaaba bitukidwako Tujja Kuba nga tukutegeeza

 

 

Ono Aliko Amasomero Amalala Mangi Galambudde nga nago galinamu ebisomooza wabula Nga Gavumenti yokuvaayo ebeeko kyekolawo.

 

 

732 👁️ 👁️ views…

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved