Luganda

Muzeemu Abaana Baffe Amanyi nga Bagenda okola ebya P7 Father Kalanzi Akutiidde Abazadde Ku Seeta Junior School Mukono

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Muzeemu Abaana Baffe Amanyi nga Bagenda okola ebya P7 Father Kalanzi Akutiidde Abazadde Ku Seeta Junior School Mukono
Muzeemu Abaana Baffe Amanyi nga Bagenda okola ebya P7 Father Kalanzi Akutiidde Abazadde Ku Seeta Junior School Mukono

Share


Wakati ngabaana bekiiina ekyomusanvu betegeka okola ebigezo bya PLE abazadde bakubirizidwa okuzaamu abaana babwe amanyi nokubakiririzamu nga bagenda okukola ebigezo byabwe ebyakamalirizo 

 

 

Byogeddwa Father Raymond Kalanzi bwabadde asabira abayizi 97 abagenda okutuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo ebyekibiina ekyomusanvu ku somero lya Seeta Junior School Mukono

 

Okusabira abayizi b'ekyomusanvu ku somero lya Seeta junior school e Mukono kukulembeddwamu Father Raymond Kalanzi okuva ku Theresa babies home nga kutandise nakolobya nyimba ezisuuta nokutendereza omutonzi

 

 

Abayizi abasiraamu nabo basanyusiza abazadde nga bazikira ku nyimba zekisiramu nga banekanekanye mubyambalo byabwe ebyeddini

Wano nabayizi bekyomusanvu basanyusiza abazadde nga babiibya nga nabayizi abakikiridde banabwe basomye obubaka bwokwebaza abantu abenjawulo abababeredewo

Oluvanyuma Father Raymond asabidde abayizi,abasomesa n'abazadde nga abafuyide namazzi agomukisa mungalo 

 

 

Ono nga ali wamu nomukulu wesomero bagabide abayizi Success card eziwereddwa omukisa 

Father Raymond Kalanzi mukubulira asabye abayizi abagenda okutuula ebigezo  byabwe okwesigama kumpagi satu okuli okulembeza empisa, okwesiga katonda Nobunyiikivu mubuli kyebakola

 

 

Ono asinzidde wano nasaba abazadde okuzaamu abayizi amanyi nga bababulira ebigambo ebibagumya ate ebibazamu omanyi okubalaga nti babakiririzamu era bajja kumalako

Omusomesa wekibiina ekyomusanvu Omoda James Peter yebaziza abantu abenjawulo webakolaganye okulaaba nga bateekateeka abayizi 

 

 

 

Ye ssentebbe wakakiiko kabazadde bekibiina ekyomusanvu asibiridde abayizi entandda baleme kubuzabuzibwa nabusasi wabula bakiririze mwebyo byebasomye 

 

 

Omwami Brian Sserugo omukulu wesomero lino ategezeza nti betesetese bulungi era balina okukiriza nti bakuyitira dala wagulu bwatyo neyebaza abantu abababeredewo okuli abataandisi bamasomero ga Seeta Dr JC Muyingo ne maama Rose Muyingo,abazadde wamu nabasomesa 

Ono akubiriza abazadde okozesa oluwumula okuyigiriza abaana ebyomikono ko nokubakuumira mu ddini ne mpisa 

 

 

Wabadewo okutona ebirabo nga kukulembeddwamu omukulu wesomero lino Brian Sserugo noluvanyuma abayizi bekibiina ekyomusanvu nga bali wamu nabasomesa nebasala cake 

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved