Luganda

Namwe Musobola Temwenyoma Hon Min Dr Balaam Barugahare Agumizza abantu abaliko obulemu

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Namwe Musobola Temwenyoma Hon Min Dr Balaam Barugahare Agumizza abantu abaliko obulemu
Namwe Musobola Temwenyoma Hon Min Dr Balaam Barugahare Agumizza abantu abaliko obulemu

Share


Abantu abaliko obulemu kumibili jaabwe basabiddwa bulijjo okukomya okweenyomaanga,kubanga balina obusobozi bunji okukola ebintu ebinene munsi muno.

 

 

Okusaba kuno kukoleddwa Minisita wabavubuka Balaam Barugahare, nga asinzira kumukolo ogwokutambula oguyitiddwa Corsu walk ogutegekeddwa eddwaliro elijanjaba abaana abaliko obulemu elya Corsu hospital.

 

 

Balaam agamba nti abantu banji munsi muno bafuuse abensonga ngate baazalibwa nobulemu,kale nga okubera nobulemu sibutesobola.

Balaam era asabye ne gavumenti okukendeeza omusolo kubyuuma ebikozesebwa eddwaliro lya corsu okulaba nga tebijibwaako musolo,kubanga eddwaliro lino likola omulimu munene mukujanjaba abaana begwanga.

 

 

Okutambula kuno okwategekeddwa eddwaliro lya Corsu okwayitiddwa Corsu walk 2024, kugendeledwaamu kwongera kumanyisa abantu nti abantu abaliko obulemu basaanye okubera ne dembe nga tebatulugunyizibwa.

 

 

Wabula ye Caleb Owino ngono nga yesentebbe wolukiiko olukulu oludukanya eddwaliro lino ye agamba nti yesaawa bana Uganda baveeyo nabo bakwatizeengako eddwaliro lino nga betabanga mukutambula nga kuno okulaba nga bakunganyizaamu akasente okuyamba kubaana abajanjabibwa mu Corsu Hospital.

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved