Luganda

Mwongere Amanyi mukukuuma Obuyonjo KCCA Eyambalidde Bana Kampala

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Mwongere Amanyi mukukuuma Obuyonjo KCCA Eyambalidde Bana Kampala
Mwongere Amanyi mukukuuma Obuyonjo KCCA Eyambalidde Bana Kampala

Share


Ekitongole ekivunanyizibwa ku kibuga ekikulu Kampala , ki Kampala Kampala Capital City Authority kikubiriza abantu bonna okwongera okukwatira awamu okukuma obuyonjjo nadala nga bakola ebyo ebiziyiza obukyaffu.

Gamba nga okumansa kasasiro, okugogola emyaala no kwetaba mu muntekateka zonna ezitumbula obuyonjjo.

 

Bano nga bakulembedwamu Amyuuka Akulira ekitongole kino Eng Benon Kigenyi, basinzidde Kasubi Kawaala nebetaba buterevu mu kugogola emyaala  no kukunganya kasasiro wansi we nkola ya Weyonje" ku luguudo Oluva e Kawaala okudda e Bwaise.

Eng Benon Kigenyi asabye abantu mu Kampala okwewala okusasanya kasasiro mu zimu ku nguudo era nga kati ye kawefube gwebabakanye naye okusomesa abantu bewalire ddala mu kusasanya kasasiro.

Abakubuliriza okwewala obujama nti kuba buvako endwaddde ate nezibatwalako Sente mukwejanjaba.

 

 

Wano natwaala ebyobula mu KCCA Dr Sara Zarwango wasinzidde nakubiriza banakampala okwongera okukuma obuyonjo no butonde bwensi wama gwe Ekibuga kyongere okunyumira buli muntu nga mulamu bulungi.

Ono era ategezeza nga bwebagenda okwongera amanyi mukukuma obutonde bwensi oluvanyuma lwo kuwangula engule eyobutakabanira mu bibuga byonna mu ggwanga.

 

 

Mu buffu buno ne kansala atwaala ekitundu Kya Kawaala zone 3 Wasajja Edie Gulu atendereza enkola ya Weyonje nti ekoledde ddala okutumbula obuyonjo mu bantu. Bwatyo nasaba KCCA okubongera ku bimotooka ebikunganya kasasiro.

 

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

Tagged In

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved