Luganda

Omutandiisi wa Maganjo Grain Millers Dr Benon Luggya Atenderezza katonda kulwa Diguli okuva ku Bugema University Bibiino Ebyewunyisa kubulamu bwe

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Omutandiisi wa Maganjo Grain Millers Dr Benon Luggya Atenderezza katonda kulwa Diguli okuva ku Bugema University Bibiino Ebyewunyisa kubulamu bwe
Omutandiisi wa Maganjo Grain Millers Dr Benon Luggya Atenderezza katonda kulwa Diguli okuva ku Bugema University Bibiino Ebyewunyisa kubulamu bwe

Share


Mungeri etali yabulijjo Kumatikila ga Ssetendekero wa Bugema Agawedde agomulundi ogwa 30 Munabyanfuna era Munabyanjigiliza Benon Luggya yawereddwa Honorary Doctorate in Law Mungeri yokumusiima olwetofaali Eddene Lyagasse kumawanga,Diguli eyekika Ngeno teweebwa buli Muntu wabula ewebwa Oyo aba asulukumye Mungeri jakolamu emirimu nokuba owenkizo Mwebyo byaba akoze.

 

 kinajukilwa wano mu Gwanga lya Uganda omu kubantu abafuna ekitiibwa kino yadde nga teyasoma nyo yali  omugenzi prof James Mulwana newankubadde yali talina baluwa ya P7 yasobola okufulibwa pulofeesa olwebintu ebinene byeyali Akoze .

 

 

 

Okwawukanako ne Dr Benon Luggya ye musajja musomesa mutendeke wabula olwebyo byatuseeko yasobodde okutuuka kukitiibwa kino .

Manya Bino ku Dr Benon Luggya 

Ono aze yelandiza era nga Ssemaka ajjude , Munabyanfuna, Munabyanjigiliza era Munadiini.

Mungeri eyobumalilivu yasuulawo omulimu gwobusomesa bwatyo natandiika Maganjo Grain Millers mumwaka gwa 1979 gyemyaka 45 Bweddu era agamba ebintu tebyali byangu wabula katonda Azze Abasasiila Naabo bakola Nabo Emilimu okutuusa kakano .

Maganjo Grain Millers Yekulembedde wano mugwanga okufulumya Emmere egatidwaako omutindo ngegula ebirime kubalimi abasukka mu 1500 olwo nesasanya Emmere Eno etegekedwa obulungi kuno kwosa okuwa abantu Emilimu Nkumi Nankumi.

 

 

Dr Luggya agaseeko nti Ddala mazima katonda wabuyinza Emmere etegekebwa wano aba Maganjo tekoma mu uganda wokka Kati nga yetanilwa nyo nemumawanga gebunayiila okuli America(USA), Bungereza,Canada ,UAE nawalala kyagambye nti buwanguzi bwamanyi.

Kunsonga ya Balimi baffe wano mu Uganda ategezeza nti wakyaliwo obwetaavu okwongera Amanyi Mukulima Emmere nga Kasooli omuwemba ,omuceere nebirala mubungi kubanga obwetaavu Bungi Ddala wabula nabakubiliza okwongera okuba abayonjo mummere yaffe kubanga wekituuka Mumawanga gebunayiila yadde Emmere yaffe ewooma naye Obuyonjo tebumatiza babweru nawa ekyokulabilako nga Kasooli gwagambye nti batuuka okumukebera nga Simuyonjo kimala kumwesiga nolwekyo bekikwatako bafube okulaba nga kilongoseebwa wabula wano buli Lunaku bo ngaba abamaganjo betaaga Tani Za Kasooli 30 okukuba Akawunga.

 

 

 

Ono agamba olwokuba musomesa mutendeke teyasuula buvunanyibwa bwabwe yemutandiisi wamasomero ga Midland schools agagenze nga Gagaziwa mubitundu ebyenjawulo wano mu Uganda ngera gegamu agasinga okufulumya Abaana Abasomye Obulungi.

 

 

Mububaka bwe Eri abantu abayingila mukutandiikawo emirimu abakubiliza obutatya bisoomoza wabula webijja bagume Kuba tewaba kyakola ngoba wayingidde ekintu tokiliza kukivaamu ,agaseeko okuba omwesigwa,okukola enyo,okukwatagana nabantu  abalala okusinga byonna okwesigama kukatonda.

 

Ono agaseeko olwabyonna byatuseeko omuli okufuna Diguli Eno Ayise Mikwano Jje kukabagaba akamanyi bajje bamwebalizeeko katonda olunaku lwomukaaga nga kakubeerako Abagenyi abayite .

 

 

 

 

5403 👁️ 👁️ views…

If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved