Luganda

"Toli Mulalu, Otegeera Bulungi" - Omulamuzi Asingisizza Christoper Okello Onyum Omusango Gwotta Abaana 4

Ssekanjako Deus
By Ssekanjako Deus


"Toli Mulalu, Otegeera Bulungi" - Omulamuzi Asingisizza Christoper Okello Onyum Omusango Gwotta Abaana 4
"Toli Mulalu, Otegeera Bulungi" - Omulamuzi Asingisizza Christoper Okello Onyum Omusango Gwotta Abaana 4

Share


Omulamuzi wa Kkooti Enkulu ebadde etuula e Ggaba Alice Komuhangi Kaukha asingisizza Christopher Okello Onyum omusango gwokutta abaana 4 e Ggaba.

 

Omulamuzi agaanye ekya Okello okweyita omulalu nategeeza nti ettemu lino lyeyakola yalyeteekerateekera bulungi nnyo era neebyo byonna ebyaddirira byoleka nti ategeera bulungi nnyo era neweyaddiza omusango nga 2-April-2026 yali ategeera.

 

Omulamuzi era ategeezezza nti mukwewozaako kwe Okello teyegaana musango gwakutta baana nti wabula teyakikola mu bugenderevu nti waliwo ebyali bimusindiikiriza okukola ekyo.

 

Omulamuzi Komuhangi ategeezezza nti ebikolwa bya Okello okwali; okufuna alipoota yokutegeera nga tanazza musango, okuggyayo ssente ku mobile money wamu n’okusasulira okweyazika emotoka nga akozesa bbanka wamu n’okusasulira ennyumba gyeyapangisa byoleka nti yali ategeera bulungi.

 

Omulamuzi era ategeezezza nti oluvannyuma lwa Okello okulemererwa okuleeta obujulizi okuva mu Ddwaliro oba ow’Olunganda lwe oba bazadde be okukikakasa nti alina ekizibu ku bwongo kyoleka nti ddala omusango yaguzza ategeera.

 

Omulamuzi akakasizza nti oludda oluwaabi luleese obujulizi obumala okuluma Okello nti ddala abaana 4 yabatta mu bugenderevu

 

Lindilira omanye ekibonerezo ekigenda okumuweebwa kubanga kooti ekyatudde.


If you have a story in your community or Opinion piece that you would like to share, send us an email via [email protected]

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved