Luganda

Abakungu ba Ngora basimbiddwa mu kkooti ku by’okubulankanya sente za district

Ssemaganda Moses Hope
By Ssemaganda Moses Hope


Abakungu ba Ngora basimbiddwa mu kkooti ku by’okubulankanya sente za district
Abakungu ba Ngora basimbiddwa mu kkooti ku by’okubulankanya sente za district

Share


 

Akakiiko ka State House Anti-Corruption Unit nga kakolaganira wamu ne poliisi wamu n’ofiisi ya Ssaabawaabi wa Gavumenti, kasimbizza abakungu babiri ab’oku ntikko mu District ye Ngora wamu n’omuddukanya eddundiro ly’amafuta mu kkooti eya ddaala erisooka e Ngora ku misango egyekuusa ku kubulankanya ensimbi za gavumenti.


 

Abavunaanibwa kuliko Opio Stanislas Francis, akola ng’Omukwanaganya w’emirimu gy’obuyiiya mu district (Acting District Engineer), Okello Samuel, omumyuka we, ne Oroni Herbert, maneja wa Retta Solution Uganda Limited. Bano basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Isaac Boniface Abilu, eyabasomera emisango ebiri okuli ogw’obubbi n’ogw’okwekobaana okukola ekikolwa eky’obumenyi bw’amateeka, wabula bonna ne bagyegaana.


 

Kigambibwa nti wakati w’omwaka 2024 n’omwezi gwa March 2026, abavunaanibwa bano bekobaana ne babulankanya amafuta ga district agabalirirwamu obukadde bwa shillingi obusoba mu 35, agaali gagendereddwamu okukozesebwa mu kuddaabiriza enguudo mu Ngora. Wabula emirimu egyo tegyaakolebwa nga bwekyali kitegekeddwa.


 

Omuwabi wa gavumenti, Sisye Emmanuel, yategeezezza kkooti nti okunoonyereza ku musango guno kuwedde dda, era n’asaba abavunaanibwa batwalibwe ku limanda okutuusa olunaku lw’okuwulirako omusango bwe lunaategekebwa.


 

Omulamuzi yategeezezza abavunaanibwa nti balina eddembe okweyimirirwa, naye olw’okuba tebaabadde na babeyimirira mu kiseera ekyo, yasalawo okubasindika ku limanda okutuusa nga 05 May 2026, nga bategese ebisanyizo ebyetaagisa okusaba okweyimirirwa.


 

Okunoonyereza okwakolebwa akakiiko ka State House Anti-Corruption Unit kulaga nti District ye Ngora yafuna ensimbi okuva mu gavumenti mu myaka gy’ebyensimbi 2024/2025 ne 2025/2026 ezabalirirwamu obukadde 1.75 billion, nga zaali za kukola n’okuddaabiriza enguudo. Kyokka olw’obutakolebwa kw’emirimu egyali esuubirwa, abatuuze beekubira enduulu eri akakiiko kano n’ebitongole ebirala nga bemulugunya ku bubulankanya bw’ensimbi.


 

Kitegeerekese nti mu nteekateeka ya gavumenti ey’okutumbula emirimu mu district ne mu municipality, buli mwaka ensimbi eziwera ziteekebwa mu mirimu egy’okuddaabiriza enguudo n’okutumbula embeera z’abantu. Department ya Works etwala ebitundu nga 10% ku nsimbi zino, wabula okunoonyereza kwa State House Anti-Corruption Unit kulaga nti mu bitundu bingi mu ggwanga, ensimbi zino zibulankanyizibwa, ekivuddeko abakungu bangi okusimbibwa mu kkooti.


 

Omusango guno gukyagenda mu maaso nga abavunaanibwa bali ku limanda, ate nga bannansi ba Ngora balindiridde obwenkanya n’okulaba nga ensimbi zaabwe zikozesebwa mu butuufu.


 

Tagged In

MOST POPULAR STORIES

© Copyright 2026, All Rights Reserved